Nnamugereka

Pentecostal,Ordinary Time,Wedding,Ordinary Time,Ordinary Time,Ordinary Time,Ordinary Time,Ordinary Time,Ordinary Time,Ordinary Time,Ordinary Time,Ordinary Time,Christmas,Ordinary Time,Ordinary TimeOffertory
Verse 1

Nnamugereka atuwa ebirungi, ai Lugaba Nnamugereka

Nnamugereka tumwebaze ffe, ai Lugaba Nnamugereka

Katumutwalire kku bino ebyaffe, ai Lugaba Nnamugereka

Ku by`atugabira tumuddize ffe, ai Lugaba Nnamugereka

Mugye tubitwale - Ai Lugaba Nnamugereka

Tubitwale gy`ali -

Omukama abisiime -

Ebivudde mu ffe -

Verse 2

Nnamugereka agaba ebirungi -

Nnamugereka tumuddize ffe -

Ffe abamutonera tumwewe naffe -

Alyoke asiimwe bye tutona ebyo -

Nnamugereka omulungi bw`atyo -

Buli k`olina mutonere ggwe -

Nnamugereka omulungi bw`atyo -

N`obulamu bwo bumuddize oyo -

Verse 3

Twanguweko tugende gy`ali -

Nga tuli kimu ffena atusiimwe -

Oyo gw`omanyi ng`era omukyaye -

Ky`akusaba musonyiwe oyo -

Alyoke asiimwe ekirabo ky`owa -

Ekimusanyusa era ekiwooma -n

Verse 4

i) Weebale, weebale Ssebo Taata weebale -Tweyanzizza

Ffenna twogera kimu Ssebo nti weebale -

Tweyanzizza

Tweyanzizza *2 Lugaba weebale tweyanzizza

Verse 5

ii) Weebale, weebale Ssebo Taata weebale -

Ffenna twogera kimu Ssebo nti weebale -

Verse 6

iii) Weebale, weebale Ssebo obulamu bw`otuwa -

Ffenna tuli mu ssanyu okukwebaza -

Verse 7

Weebale, weebale Ssebo obulamu bw`otuwa -

Anti tuli mu ssanyu Ssebo okukwebaza -

Verse 8

v) By`otugabira bingi weebale -

Naffe tusaana tuyimbe Ssebo okukwebaza -n

Verse 9

vi) Weebale, weebale Ssebo Taata weebale -

Ffenna twogera kimu Ssebo nti weebale -